Abatuuze e Buyala bagamba nti KCCA essussizza ejjoogo
Kasasiro atandise okuyiibwa ku ttaka KCCA lyegamba nti yagula e Buyala ku lw’e Mityana, atabudde abatuuze mu kitundu abagamba nti KCCA essussizza ejjoogo. Bano bagamba nti kasasiro ono ayiibwa mu lutobazzi okusengejja amazzi g’omugga mayanja gebeeyambisa mu bulambu obwabulijjo. Embiranye ku ttaka lino yeyongedde nga ne mu wiiki gyetukuba amabega Ab’ekitongole ky’ebibira bavaayo nebategeeza ng’ettaka lino bweriri eryekibira kya Buto-Buvuma.