Abavuganya boogedde obukodyo bwe baleese okukuuma akalulu ka Kawempe North
Abeesimbyewo mu kuvuganya mu kalulu k’omubaka wa kawempe North baweze okufa n’obutanyagwa okukuuma akalulu kaabwe olunaku lw’enkya nga batangira abayinza okukabba. Abeesimbyewo bali mwenda nga kuno kuliko Erias Nalukoola Luyimbazi akwatidde NUP bendera, Sharifah Nambi akwatidde NRM bendera, n’abalala. Bonna bawera nti bateze emitego egyamaanyi okukwata buli anaagezaako okubba akalulu kaabwe.