Abawagizi ba NRM balwanaganye e Isingiro
Abakulu mu kibiina ki NRM mu disitulikiti ye Isingiro bawaliriziddwa okugira nga bayimiriza mu kkampenyi z’abeegwanyiza bendera y’ekibiina ku kifo ky’omubaka wa Isingiro South okutuuka ku bbalaza ya wiiki ejja. Kino kiddiridde okulwanagana okwamaanyi okwabaluseewo wakati w’abawagizi b’omubaka Alex Byarugaba n’e Assesio Mali Mujuni abaabadde banoonya obuwagizi mu bannakibiina olunaku lw’eggulo. Okulwanagana kuno kwabadde ku kyalo Ruyanga mu ggombolola ye Kikagati mu disitulikiti ye Isingirio era nga kwabaddemu n’okwokya mmotoka, kko ne Boda boda.