Akalulu ka Kawempe North; waliwo abasangiddwa nga bagolola obukonge
Akakwatidde NUP bendera mu kalulu k’e Kawempe North Elias Luyimbazi Nalukoola alajanidde abantu b’e Kawempe North okuvaayo okwenyigira mukukuuma akalulu kano olunaku lw’enkya. Kiddiride bano okuggwa ku bifo eby’enjawulo ewagambibwa okubbira akalulu nga n'ekimu babatudde nabugi si mufungize. Aba NUP bakumiriza akakiiko okuba ne kyekamanyi ku bigenda mu maago wabula kko kabyegaanye nekasuubiza akalulu akajudde obwenkanya olunaku lw'enkya.