Amabanguliro g’eby'emizannyo; ensangi zino geeyongedde okuwa abazannyi emikisa
Ensangi zino, amabanguliro g’ebyemizannyo ziyite Sports Academies zeeyongedde okumeruka obutafaanananko ne bwegwali mu myaka egiyise. Okweyongera kw’amabanguliro gano kyongedde okuwa abazannyi abawera omukisa okuzannyira ku ttiimu ez'enjawulo.Kati aba Twinbrook Sports academy batandise okutta emikago n’ekkiraabu ez'enjawulo okulaba nga bafunira abaana abali mu Academy yaabwe omukisa okuzannyirako mu ttiimu ez’amaanyi.