Ameefuga e Hoima, Minisita alagidde abanyaga ettaka bakwatibwe
Minisita w’ebyamawulire kko n’ebyuma bikali magezi Dr. Chris Baryomunsi alagidde omubaka wa Pulezidenti mu kitundu kino okukwata abantu bonna abeegulidde erinya mu kwetaba mu bubbi bw’ettaka ly’abatuuze.Baryomunsi okwogera bwati kiddiridde abatuuze okumutegeeza nga bwe basula ku bunkenke olwa banakigwanyizi ababagoba ku ttaka lyabwe mu mankwetu.Ekiragiro kino Baryomunsi akiweerede mu kibuga Hoima , abatuuze bwe babade bakung’anye okukuza olunaku lw’amenunula olwakuzibwa nga 26th omwezi oguwedde mu gwanga lyonna.