Baabano abeewaayo okuyonja ennyanja Nnalubaale okusobola okugikuuma
Okunoonyereza kulaga nti, abantu abasoba mu bukadde 40 obulamu bwabwe butunuulidde nnyanja Nalubaale okwetoloola East Africa, nga mwe bajja ekikumi kye badda nakyo ewaka.Kyokka buli lukya, ennyanja eno eyongera okutabangulwa olw'okugikyafuuwaza n'okwonoona obutonde obugyetoolodde na ddala okusuulamu ebintu bya Plastic. Mu myaka egiddako, kino kitegeeza nti n'ebyenyanja abantu bye bavubamu okulya bijja kuba bya munyoto olw'obulabe plastic ono by'alina gye biri., Kyokka okwewala embeera eno waliwo ekibinja ky'abavubuka abeewayo okukola obwa nnakyewa nga bayonja ennyanja eno nga baggyamu plastic abantu gwe basuulamu.