Balaam ne Full Figure basambazze ebigambo bya Sanya
Olunaku lw’eggulo munna NUP omu ku baayimbulwa ku kisonyiwo ky’omukulembeze w’egganga, Muhaidiin Kakooza, yavuddeyo nasabe ekibiina ki NUP kimusonyiwe olwokwogerera omukulembeze waakyo amafuukuule ng’agamba nti yakozesebwa Minisita w’abavubuka n’abaana Balaam Barugahara kwosa Jennifer Nakanguubi amanyiddwanga Full Figure. Kati Olwaleero abakulu bano bombi ebyogerwa Kakooza babisambazze. Wabula abakulu mu NUP batubuulidde nti tebalinabuzibu ku Kakooza era nba bbo beetegefu okumwaniriza.