Bannasayansi baakugeseza eddagala ly’ekinnansi ku kirwadde kya ssukaali
Kitegeerekese nti Uganda esemberedde okuzuula eddagala eriwonya endwadde ya ssukaali ekika namba bbiri nga yeeyambisa eddagala ly'ekinnansi okusinziira ku kunoonyereze okubadde kukolebwa bannasayansi. Okusinziira ku minisita wa sayansi ne tekinologoya Monica Musenero, baludde nga beetegereza eddagala lino, nga balikuba mu bisolo, nga kati bawulira akaseera katuuse baligezese ku bantu. Musenero agamba nti okunyooma eddagala ly'ekinnansi kata kubafiirize omukisa guno, wabula kati ke kaseera okubakwasiizaako Uganda esobole okwejjanjaba mu nkola eyaayo wabula nga ya kikugu.