Bano bakozesa bibumbe n’ebiyiiye ebirala okunyumya emboozi
Ku kyalo Ruboni, ekisangibwa mu tawuni kanso y’e Kasese , waliwo abavubuka betusanze nga beyambisa amazzi n’ebibumbe okunyumbya emboozi mu kyebayise Talking Art. Bano bakola ebibumbe n’ebiyiiye e birara, n’ebeyambisa amazzi okubiwa ky’oyinza okuyita obulamu , kyoka nga bw’obyetegereza biriko emboozi gye binyumya. Bagamba nti buli byebakola babyesigamya nnyo ku buwangwa ,n’ebyo bye bakuze balaba.