Barbie Kyagulanyi asabye abakyala mu NUP okwenyigira mu by’obufuzi
Barbra Itungo Kyagulanyi nga ye mukyala w'akulira ekibiina ki National Unity Platform asabye bakyala banne okufaayo okwenyigira mu by’obufunzi bavuganye ne ku bifo by'obukulembeze olw'obusobozi bwe bazze boolesa mu ngeri ezitali zimu.Itungo kino akyesigamizza ku ngeri abakyala mu kibiina ki NUP boolesaamu obugumiikiriza mu mbeera embi gye bazze bayisibwamu naye nebasigala nga balemedde ku mazima.Ono y'abadde omugendyi omukulu ku mukolo gw'okukuza olunaku lw'abakyala olw'ekibiina ki NUP olubadde ku kitebe kyabwe e Makerere Kavule.