Dr. Kizza Besigye asabye omulamuzi amuwozesa akyusibwe
Dr. Kizza Besigye ne munne Obedi Lutale bwebavunaanwa ogw’okulya mu nsi olukwe bawandiikidde akakiiko akakola ku by’ekiramuzi nga baagala omulamuzi wa kooti esokerwako e Nakawa Christine Nantege abadde awulira omusango gwabwe akyusibwe. Mu nsonga ze bawadde kuliko okulemererwa okugoberera ssemateeka nga akola emirimu gye,naddala bweyagaana okugoberera ssemateeka amuwa enkizo okuyimbula omusimbe aba amazze ebbanga erisukka mu myezi omukaaga nga ali ku alimanda. Kati bano basaba nti bwekiba kisoboka akakiiko akavunanyizibwa ku balamuzi ka Judicial service commission okuyingira mu nsonga eno.