Dr. Lulume ne Ssebamala batandise ekisinde okutereeza DP
Oluvannyuma lw'okumeggebwa mu kalulu ka ttabamiruka wa DP, Dr Lulume Bayiga ne munne eyawandulwa mu lwokaano Richard Ssebamala basazeewo okutandikawo ekisinde ekyabwe kyebasuubira nti mwe banaayita okuzza ekibiina kyabwe ku ntikko. Ekisinde kino kituumiddwa DP GREAT AGAIN. Kyokka nti newankubadde bino byonna babikoze, bakyalowooza ku ky'okuddukira mu kkooti okuwakanya obuwanguzi bwa Norbert Mao.