E Kasese abaana babiri bafudde okuyigulukuka kw’ettaka
Abaana babiri be bafiiridde mu kuyigulukuka kw'ettaka olunaku lw'eggulo wakati mu kire ky'enkuba eyabadde efudemba.Omwana omu nga wa myaka 13, ekisenge mweyabadde yebaase ne badde kyabagwiriidde olw'okusiindikirizibwa ettaka eryayigulukukidde enju yaabwe.Omulala omulambo gwe gwasangiddwa mu mugga nga gukulukusibwa. Poliisi erabudde abantu abali mu bifo ebiri mu katyabaga okubyamuka nga bukyali.