Emizannyo gy’ebika; Engabi ennyunga 1: 2 Omusu
Ekika ky'engabi Ennyunga kikubiddwa Omusu ggoolo 2-1 mu lumu ku nzannya z'omupiira gw'ebika bya Baganda ezibaddewo ku kisaawe kya Lubiri Secondary School. Mu mupiira omulala Ekika ky'ensuma kikubye Empeewo ggoolo emu ku bwereere ate Enjovu nekuba Entalaganya ggoolo 3_2Ogwa Mazzi g'ekisasi n'ekinyomo tegubaddeeyo ate Ekobbe lifunye obubonero obwokumukeeka olw'ekika kya Kayozi kye babadde bagenda okuttunka nakyo ku kisaawe kya Kibuli Secondary obutalabikako.