E Mityana poliisi erinnye eggere mu nteekateeka ya NUP
E Mityana, poliisi teganyizza bannakibiina ki NUP, okugenda mu maaso n’enteekateeka yaabwe ey’okukunga abavubuka baabwe okwetaba mu kulonda kw’abavubuka n’obukiiko bwabwe ku byalo okuliyo nga 19 omwezi guno. Poliisi ekedde kuyungula basajja okuzingako ekifo bano we babadde bategese olukungaana lwaabwe mu nteekateeka eno.