E Nakasongola bizinensi zifudde lwa kawaali w’enkima
Abatuuze b’e Lwampanga mu district y’e Nakasongola ne gyebuli eno tebanadda ngulu oluvanyuma lw’okubalukawo kw’ekirwadde kya Kawaali w'enkima oba Monkey Pox mu ggwanga. Eby’obusuubizi eno kati bitambula kasoobo kubanga abantu abakyeyuniranga baakidduka okuva lwe baawulira nti obulwadde buno bwakubayo ensiisira.Ku balwadde 222 abaakazuulibwamu obulwadde buno mu ggwanga,41 bali Nakasongola nga eggombolola ye Lwampanga erinako 18.HERBERT KAMOGA abaddeko mu kitundu ekyo n'atuggyirayo bino.