Ebbeeyi y’eby'ennyanja n’enkoko e Kanungu erinnye lwa kirwadde kya ‘Anthrax’
W’owulirira bino nga bbeeyi y'ebyennyanja n'enkoko mu disitulikiti ye Kannungu yeyongedde oluvannyuma lwa gavumenti okuteeka envumbo ku kutambuza ebirundibwa awaka. Envumbo ku kutambuza ebisolo by'awaka yassibwawo gavumenti oluvannyuma lw'okubalukawo kw'ekirwadde kya Anthrax nga kino kyakatta abantu 4 so nga abasukka mu asatu bali mu malwaliro. Embeera eno eviiriddeko bizineesi ezimu gamba ng'ezokwokya ente n'embuzi okuggalawo.