Ebbula Ly’emmere Mu Babundaabunda: Abaagala okw’ejja mu bulamu olw’enjala beyongedde
Abakola ku babundabunda, n’abakugu mu mbeera z’abantu bakizudde nga omuwendo gw’ababundabunda abaagala okwejja mu budde bwe gweyongedde nga kino kivudde ku bungi bwa mmere ebawebwa okukendeera. Tukitegedde nti embeera eno yatandika okuva ekitongole ki World Food Program lwekyasala ku mmere gyekiwa ababundabunda n’ebitundu 60%. Bagamba nti kino okusinga kikosezza nnyo abalwadde abali ku dagala erijanjaba endwadde z'e mitwe ,abetaaga okulya obulungi n’okwerabirira.