Ebigobererwa mu kukomaga
Ekigambo lubugo bwokyogera abamu amatu gabawawaala era nebatuuka nokukikatiriza nti lwa sitani kyoka abalala bakimanyi buluungi kuba olubugo olugyibwa obuterevu kumuti ogwomutuba era balukozesa kumikolo egyisinga mu Buganda,Busoga namawanga amalala. Olubugo lawaali lugoye olwayiyizibwa abaganda okwebikako kumubiri bejako ensonyi mubiseera ebyedda olwokuba baali nga bayita bute.Olugoye luno lugambibwa okuba nti lwavumbulwa bazukulu ba Kisolo abe Nngoonge era aba Warabu abasooka okugya nga baleese engoye zaabwe okuziguza abadugavu, basanga abantu bano nga bambala embugo zebekomagidde.