Otafiire yeegaanye ab’ebyokwerinda abaakuba abantu e Kawempe
Minisita w’ensonga z’omunda mu ggwanga Maj. Gen. Kahinda Otafiire, abuulidde ababaka ba poliisi nti tavunaanyizibwa ku ka kabinja k’ebebyokwerinda abaakola obulabe ku bantu b’e Kawempe ne bannamawulire mu kaseera k'okulonda kw’okujjuza ekifo ky’omubaka wa Kawempe North, nti yye obuyinza obubwe bukoma ku poliisi.Bino Otafiire abibuulidde ababaka abatuula ku kakiiko ak'ebyokwerinda n'ensonga z'omunda ababade basisinkanye ebitongole by’ebyokwerinda okuli Poliisi n'ekitongole ky'amakomera.Kyoka okwanukula kwa minisita mu ngeri ey’olubalaato etabudde bannamawulire ne baamuka akakiiko kano.