Kkooti yaakusalawo nga 4 omwezi ogujja ku by'okweyimirira Eron Kiiza
Omulamuzi Michael Elubu ataddewo nga 4 omwezi ogujja okuwa ensala ye ku kusaba kw’okweyimirirwa okwa Munnamateeka Eron Kiiza.Kiiza Olwaleero alabiseeko mu maaso g'omulamuzi Elubu oluvannyuma lwa kkooti okufulumya ekiragiro eri ekitongole kyamakomera okumuleeta mu kkooti eno. Kiiza ali ku misango gy'okuyisa olugaayu mu kkooti gyeyaddiza mu kkooti yamagye e Makindye eyali ewulira emisango gya Besigye egyekuusa ku kusekeeterera gavumenti.