Waliwo abasse omukuumi e Mityana
Entiisa ebuutikidde abatuuze ku kyalo Bamunanika mu divizoni ye Busimbi mu municipaali ye Mityana abazigu bwe balumbye essundiro ery’amafuta erya Moonlight ne batta omukuumi mu bukambwe oluvannyuma ne bakuulita ne pikipiki.Ettemu lino lyatuseewo mu kiro ekikeesezza olunaku olwaleero abazigu bwe baalumbye essundiro eryamafuta ne batta omukuumi ebadde akolawo ,Kigambibwa nti bano baasoose kwefuula bagala mafuta era bweyavuddewo ne bamutta n’oluvannyuma ne batwaala emu ku pikipiki ezabaddewo. Attiddwa ategerekese nga ye Otim Kizito Justin naye abadde omutuuze ku kyalo ekyo.