E Namutumba abatuuze beemulugunya ku malwaliro agatamala bulungi
Abatuuze mu disitulikiti y’e Namutumba benyamivu olw’ebbula ly’amalwaliro agatamala mu kitundu kyabwe ekiviiriddeko abakyala abamu okuzaalira mu makubo nga bagenda mu malwaliro.Tukitegedde nti mu gombolola nga Nabweyo ne Bugobi teri malwaliro gamala, kino kitadde abatuuze mu katyabaga k’okufa endwadde ezijanabika