EBY’ENJIGIRIZA E KATAKWI: Ebibiina ebimu bifuuliddwa bisulo
Mu kawefube waffe ow'okukulaga embeera y'amasomero nga bweri okwetolola eggwanga,olwaleero katukulage embeera y'amasomero nga bweri mu district ey'e Katakwi.Eno waliyo essomero eriyitibwa Acanga primary ng’abalikulira baasalawo ebibiina ebimu okubifuula ebisulo ebisulwamu abayizi nekigendererwa eky'okwongera ku mutindo gw'abayizi mu bigezo ebyakamalirizo.