Eby’ettaka KCCA we yagala okumuyiwa biwanvuye
Nate endolito zeyongedde mu kaweefube w'ekitongole ki KCCA ow'okufuna ettaka awagenda okuyiibwa kasasiro ava mu kibuga Kampala ,oluvanyuma lw'ekitongole ki KCCA okufuna ebaluwa okuva mu kitongole ekivunanyizibwa ku butonde bwensi , nga ebategeeza ng'ettaka kwebaagala okuyiwa kasasiro e Buyala bweritudde ku lutobazzi.
Kino kigenze okujja nga KCCA ebadde mu ntekateka zakufuna ttaka eryenkomeledde okutekayo kasasiro ava mu kibuga
Mu kaseera kano KCCA terina kifo kya nkomeredde awayiibwa kasasiro.