Sipiika Among alagidde ababaka balambule ku Besigye
Amyuka Sipiika wa Palamenti Thomas Tayebwa alagidde akakiiko ka palamenti akalondoola eddembe ly’obuntu okugenda mu kkomera e Luzira okukakasa ebigambibwa nti eddembe lya Dr. Kizza Besigye lirinyirirwa okuli okummuma emmere gy'ayagala, sako n’okumusibira mu kaddukulu ng'akalimu yekka.
Tayebwa okusalawo ati kiddiridde ababaka ba palamenti kuludda oluvuganya okulumiriza nga bwefuuse kyesirikidde ng'eddembe lya Besigye lirinyirirwa mu kkomera gyaali.