Ekiragiro kya ‘helmet’ ebbiri kijja ku ba boda-boda mu kaweefube w'okulwanyisa obubenje
Mubbanga eritali lyawala, kyakufuuka kyabuwaze eri buli mugoba wa bodaboda okuba n'ebikofiira by'okumutwe oba helmet bbiri , eyiye n'eyomusaabaze ng’omu ku kawefube w'okukendeeza ku muwendo gw’abasaabaze abafiira mu bubenje bwa Bodaboda. Gen Katumba Wamala , minisita w'ebyentamula agamba kino kyandibadde kyassibwa dda mu nkola wabula wabaddewo ebikyabasibyemu omuli n'okugoberera amateeka g'ensi yonna.Bino abyasanguza bw'abadde atongoza enkola eyitibwa Safe Steps egendereddwamu okusomesa abagoba ba boda-boda n’abantu abalala amateeka g’okunguudo.