EKIRWADDE KI MPOX:E Masaka abaddukanya ebisulo basattira
Abali mu bizinesi y’e bisulo mu bendobendo ly’e Masaka batubuulidde nti kati bakolera mu kufiirwa olw’ekirwadde ki kya kawaali w’e nkima oba MPOX ekibagobedde abali abbusulamu. Kino kiddiridde abasawo okubuulira abatuuze nti ekirwadde kino kisinze kwegiriisiza nnyo mu bakyala abalenga akaboozi,ate nga bebasinga okukesa ebusulo bino. Bano baagala abakola ku by’obujanjabi babafeeko mu ngeri ey’enjawulo kubanga boolekedde okuggalawo.