EKIRWADDE KY’EBITOOKE: Abakugu boogedde ku kyalumbye Kasese, bawadde amagezi
Abakugu mu kitongole kya NARO bakakasizza nga bwe wabaluseewo ekirwadde ky’ebitooke ekiyitibwa Banana Bunchy Top Virus mu bitundu by’e Kasese nga balowooza nti singa tekyanguyirwa kyandisaasanira mu bitundu ebirala eby’eggwanga. Okwawukanako n’ebirwadde ebirala ebirumba ebitooke ekirwadde kino kizibu okuzuula era nga kiviirako ebitooke okukona nendagala okwengerera.Okusinziira ku bakugu ban ekirwadde kino kyavudde mu ggwanga lya Congo era nga kitawaanya disitulikiti.