Emizizo gye Kalangala, abatuuze boogera ku bivaamu singa gisobezeddwa
Mu mboozi yaffe endala ku by’oteekeddwa okumanya, tukutuusako emiteeru egy’enjawulo egijjawo nga obulombolombo n’emizizo egimu gityoboddwa n’engeri ab’edda gye baabigonjoolamu.Abaayo bannyonnyola bye basuubira ebyavako ensoke eyagoya ab’e Kalangala mu mwezi Ogwokusatu omwaka guno n’engeri gye yandikwatiddwamu n’etekola bulabe.