Nandala oba Amuriat? FDC yaakusalawo eggoye mu ttabamiruka w’olwokuna
Ekibiina ki Forum for Democratic Change kitubuulidde nti kyakwanjulira eggwanga omuntu gwe kisazeewo okusimbawo okukikwatira bendera ku kifo ky'omukulembeze w'eggwanga.Ekibiina kirina abantu babiri abali ku mbiranye okuli Nandala Mafabi ne Patrick Oboi Amuriat.Okusalawo kuno kwa kubeerawo ku ttabamiruka w'ekibiina ku Lwokuna lwa ssabiiti eno.