Empaka z’amasomero ez’okubaka; Buddo SS eyagala buwanguzi bwokka
Oluvannyuma lw’okuwangula empaka za Netball Novices ez’akomekerezeddwa sabiiti wedde,aba Buddo Secondary School kati batunuulidde okweddiza bikopo mũ mpaka ez'enjawulo zebagenda okwetabamu omwaka guno. Bano olunaku lw’enkya baakwetaba mu mpaka za Buganda Schools Competitions ezigenda okuyindira e Kawanda okumala wiiki nnamba.