Endwadde z’emitwe mu baana, abakugu bagamba kiva ku kubasomesa nnyo
Abakugu mu ndwadde z’obwongo bakizudde nga kubuli baana basatu abasoma abali wakati w’e myaka 11 okutuuka 17 batawanyizibwa endwadde z’obwongo nga kino kiva ku mbeera gye bayitamu ku ssomero ne mumaka gyebava. Okunonyereza kuno okwakolebwa e tendekero lye Makerere ne ddwaliro lye Butabika kulaga nti abaana ku ssomero bayisibwa mu mbeera ebamalako e mirembe naddala nga basomesebwa, okukakana nga abamu bakiggyemu ndwadde za bwongo.Okunonyereza kwekumu kukiraze nti abakyala abalwala endwadde z’obwongo nga kiva ku ttamiiro kati nabo omuwendo gwabwe gwongedde okulinya era nga mu ddwaliro e Butabika babuliddwa ne webabakuumira.