ENDWADDE Z’OBWONGO: Abakugu baagala minisitule eddirize mu ngeri abayizi gye basomamu
Abakugu mu by'enjigiriza baagala minisitule ye byenjigiriza eddirize mu ngeri abayizi gye basomamu , kubanga kizuuse nga ebamalako e mirembe kko nokubaleetera endwadde z'emitwe. Bano okusaba kwabwe bakwesigamizza ku kunonyereza okwatubuuliddwa ab'eddwaliro lye Butabika , nga kulaga nti kubuli baana basatu abali wakati we myaka 11 okutuuka ku 17 , omu ku bbo aba abataawana ne ndwadde z'emitwe. Kati bano bagamba nti mpaawo kigenda kukyuka okujjako nga minisitule ekola ku by'enjigiriza esitukiddemu n'ebaako byelambika.