Enguzi mu by’enjigiriza:Museveni asuubizza okukola ku bagirya
Omukulembeze w'eggwanga Yoweri Museveni alaze obwennuyamivu olw'ebikolwa by'obuli bwenguzi ebifumbekedde mu minisitule y'ebyenjigiriza byagamba nti bafeebezza empeereza ennungi eri abaana b'eggwanga naddala abaganyulwa mu nkola ya bonna basome.
Museveni abadde ku mukolo e Kololo gye bamusiimidde olw'ebituukiddwako eggwanga wansi w'obukulembeze bweOmukolo gutegekeddwa bannakibiina ki NRM .