Enkaayana ku ttaka, abaasengulwa bagumbye ku wofiisi ya RDC
Abatuuze abasoba mu 1000 okuva mu magombolola okuli Kicwamba,Karusandara,Nyakatonzi,Muhokya ne Kasese Municipaali mu district ya Kasese, nakati bakyagumbye ku wofiisi ya RDC w’ekitundu kino nga bagamba nti babanja ttaka lyabwe lye bagamba nti gavumenti yalibagobako mu bukyaamu bweyali ezza abasongola abaali bawang’angukira mu gwanga lya Congo mu mwaka gwa 2007.Bano bekubira enduulu mu mbuga zaamateeka era kooti n’eragira baddizibwe ku ttaka lyabwe ekintu ekitanatekebwa mu nkola nokutuusa olwaleero.Kati bano baakamala wiiki namba nga basiisidde mu kitundu kino.