Enteekateeka y’okusunsula mu NUP ejjumbiddwa, bakukkulumidde ab’eby’okwerinda
Akakiiko k’eby’okulonda mu kibiina ki National Unity Platform kalaze obwenyamivu olwa kyebayise ebitongole ebikuuma ddembe okutataaganya kaweefube waabwe w’okusunsula abaneetaba mu kamyufu k’ekibiina. Bano bagamba nti okuva lwebaatandika kaweefube ono poliisi n’amaggye biringa ebyakuba ekitebe ku kibiina kyabwe e Makerere- kavule, nga negyebuvuddeko yasasira amasasi mu bawaggizi b’ekibiina abawerako ne balumizibwa. Kyoka akakiiko kagamba nti omulimu guno gujjumbiddwa nnyo mu ggwanga lyonna, era nga abeegwanyiza bendera y’ekibiina buli lukya bazza , kko n’okukima foomu okulaga obwetaavu bwabwe.