Etemu e Buddo: Babiri bakubiddwa amasasi, kubaddeko omujaasi
Poliisi etandise okunoonyereza ku masasi agaavuze akawungeezi k’eggulo ku luguddo oludda e Buddo mu tawuni kaanso ye Kyengera omwafiiridde abantu babiri. Abagenzi kwabaddeko Evelyn Nalumansi Zaria Kironde, omutuuze w'e Maggwa-Buddo eyabadde azze okugula ebikozesebwa ewaka mu katale n'omuntu omulala eyabadde mu byambalo ebyafaananyiriza eby'ejje li UPDF. Ebyakafunibwawo biraga nti Henry Opoka eyakwatiiddwa okuyambako mu kunoonyereza yeyakubye ebyasi bino wabula nti yabadde agezaako kwetaasa ku bantu abaabadde bamuwambye.