Eyakekyulako bba obusajja:Kkooti emukalize emyaka 15 mu nkomyo
Kkooti esookerwako e Kamuli esindise Susan Namuganza mu kkomera amaleyo emyaka 15 olw’okukekyulako bba obusajja .Olunaku lw’egggulo Namuganza yakkirizza omusango guno era nasindikibwa ku alimanda nga leero lwakomyewo okusalirwa ekibonerezo.Kyokka Bba wa Namuganza Moses Kawubanya tamatidde na nsala ya mulamuzi era ng’alowooza ku byakujulira.