EYASUDDE OMWANA MU KAABUYONJO: Poliisi enoonyereza ku muyizi w’essomero erimu e Mityana
Poliisi mu district y’e Mityana eriko omuyizi gwenonyerezaako lwakukakana ku mwana gw’abadde yakazaala n’amusuula mu kinnya kya kabuyonjo. Ono muyizi ono asoma senior yakubiri ku somero lya Elites College Mityana era ng’atemera mu gy’obukulu 17. Kigambibwa nti omwana ono yamuzaalidde mu kabuyonjo oluvanyuma n’amusuula mu kinnya. Poliisi era eri mu kuwenja omuvubuka agambibwa okuba nnyini mwana eyasuliddwa mu kinnya