Gen. Katumba agamba nti gav’t teyerabidde luguudo lw’e Jinja
Minisita w'ebyentambula Gen. Edward Katumba Wamala agamba nti bakyalina ebbanja eri Contrakita eyaweebwa eddimu ly'okukola ekitundu ky'oluguudo lw'e Jinja ekisangibwa mu Mabira nga yesonga lwaki luluddewo okukolwako.Katumba abadde alambula ekitundu kyoluguudo kino ekiri mu kuddaabirizibwa ba Yinginiya ba Minisitule eno okusobola okuziba ku binnya ebirimu. Kyokka ono agamba kyetaagisa okuggya mmotoka z'ebyamaguzi ku nguudo olwo ebyamaguzi bitandike okutambuzibwa eggaali y'omukka nga yengeri yokka egenda okutaasa enguudo.