Gusinze ssaabasajja: Omuzaana Venetia sebudandi azaamye
ObwaKabaka bwa Buganda butegeezezza obuganda bwonna nga omuzaana azaala Kiweewa wa Kabaka Mutebi II, nga ono ye Omulangira Crispin Jjunju bweyawummudde . Omuzaana ono ye Venetia Sebudandi era nga yafiiridde mu ggwanga lya Rwanda gyabadde abeera . ObwaKabaka busaasidde omulangira Jjunju olwokufiirwa Maamawe . Omuzaana wakuziikibwa ku lwomukaaga luno e Rwanda.