Gwe baasiba kkufulu mu matu agamba waliwo abaamuwamba
Omuvubuka eyalabikira mu katambi akasasaanira ku mitutu gya social media ngasibiddwa kuffulu ku matu azuuse nga ye Robert Muwonge omutuuze ku kyalo Buwere ekisangibwa mu tawuni kanso ye Buwama mu disitulitikiti ye Mpigi. Muwonge nga muwagizi wa kibiina ki NUP agamba nti waliwo abaamuwamba ne bamutuusa ku kino wabula nga basooka kumusoya bibuuzoo ku kibiina kino. Wabula ono agamba nti siwakupondooka.