Kiki ekyatuukawo ku kutambuza entuula za palamenti ng’olwe Gulu luwedde?
Yadde nga omwaka oguwedde Palamenti yategeeza nga bwegenda okutwala entuula zaayo mu bitundu by’eggwanga eby’enjawulo n'ekigendererwa ky'okusemberera abantu mu bitundu ebyo, wabaluseewo ebibuuzo mu bannayuganda oluvannyuma lw'emyezi mukaaga okuyitawo ng'enteekateeka eno ezingamye okuva ku lutuula kika kino olwali e Gulu Waliwo endowooza nti oba oli awo Palamenti teyassaawo mbalirira okuvujjirira entuula zino so ngabalala balowooza nti zaakuddamu mu biseera ebitali byawala Bbo abali ku ludda oluvuganya bagamba nti kino tekibeewuunyisa era nga bakyalemeddeko nti entuula ezaali e Gulu tezavaamu bibala era nga kwali kwonoona ssente za muwi wa musolo.