Luyimbazi Nalukoola atutte ab’ebyokwerinda mu kkooti
Elias Luyimbaazi Nalukoola, akwatidde NUP bendera mu kalulu k’okujjuza ekifo ky’omubaka wa Kawempe North ataddeyo omusango mu kkooti enkulu wano mu Kampala nga yemulugunya kungeri gyazze ayisibwamu ab’ebyokwerinda wakati nga akuyega akalulu ng’omubaka eyegwanyiza ekifo kya Kawempe North. Ng’ayita munnamateeka we George Musisi , ono agamba embeera gyazze ayisibwamu omuli okumutulugunya, n’okumuswazaswaza, kimenya eddembe lye ery’obuntu. Ono sabye kkooti obutakandiriza musango , awamu nokubaliyiririra.