Mengo etwala Minisita Mayanja mu kkooti lwa ttaka ly’e Kaazi
Obwakabaka bwa Buganda butubbiddeko nti bugenda kutwala minisita omubeezi ow'eby'ettaka Sam Mayanja mu kkooti, osanga y'eneemutema ebiwawaatiro bye bagamba nti amaze. Obwakabaka ssi busanyufu n'engeri omukulu ono gy'agenda ajolongamu obwakabaka ne Kabaka naddala ku nsonga z'ettaka. Wiiki eyo ewedde, omukulu ono Mayanja yasoma alipoota ku nkaayana z'ettaka ly'e Kaazi mweyategeereza nti ssi lya Bwakabaka nti era n'ekitongole ki Buganda Land Board ekikulembeza ensonga eno kiggalwe.Bano bebuuza wwa Mayanja gye yajja alipootab eno nga akimanyi na bulungi nti kkooti yasalawo dda eggoye ku nsonga eno.