Mmotoka z’empaka, abavubi baakudda mu nsiike
Abavuzi ba motoka z'empaka bakuda munsiike ku nkomerero ya sabiiti ejja nga batunka mu mpaka z'engule y'eggwanga ez'omurundi ogw'okuna omwaka guno ezigenda okutunkira mu bitundu by'ekayunga ne Jinja.Empaka zinno ezigenda okutolontoka kilomita ezisuka mu bisatu mu nsanvu zitongozeddwa mubutongole e Kayunga wakati mu badereva okuwera nga bwegenda okukuba banabwe enfufu.