Mpox yeeyongedde mu ggwanga; abasawo bagamba omutaawana guvudde ku bantu abaagala ennyo okwegatta
Uganda etekaateka okufuna doozi emitwalo kkumi okugema Kawumpuli w'enkima oba Mpox okusobola okwetakkuluzaako ekirwadde ekifunze ekyonga.
Abantu 29 be baakafa ekirwadde kino so nga abali eyo mu 3500 babulina.
Abakugu mu by'obulamu bakizudde nti abantu okwegatta ennyo, ky'ekimu ku biviiriddeko obulwadde okusasaanira ku misinde egya yiriyiri.