Mpuuga alidde ebigambo bye, yeetemye engalike ku by’okuyimbula Ssewannyana n’omugenzi Ssegirinya
Ebigambo ebyayogeddwa omubaka wa Nyendo Mukungwe Mathias Mpuuga nti aliko abakulu beyayogerezeganya nabo Omugenzi kati Muhammad Ssegirinya eyali omubaka wa kawempe North ne munne owa Makindye West Allan Ssewanyana okubakkiriza bafulume ekkomera byongedde okuleetawo akabuuza ku ngeri bano gyebaafunamu okweyimirirwa oluvannyuma lw’okusaba entakera kyokka nekutabaweebwa. Mpuuga mukwongera okutangaaza ku bigambo bino agambye nti ye yayogera n’abakulu b’amakomera bakkirize Ssegirinya afulume asobole okufuna obujjanjabi.Kinajjukirwa nti waliwo ebyayitingana nti Mpuuga ono yakulemberamu okwogerezeganya okulowoozebwa nti kwekwaviirako ababaka bano okuyimbulwa kyokka n’abisambajja era n’asuubiza abaali babisimbyeko amannyo okubatwala mu kkooti nga n’olupapula lw’amawulire lwa Daily Monitor mweruli.